Psalms 35

Zabbuli ya Dawudi.

1 aAyi Mukama, wakanya abo abampakanya,
lwanyisa abo abannwanyisa.
2 bGolokoka okwate engabo,
n’akagabo onziruukirire.
3Galula effumu,
abangigganya obazibire ekkubo;
otegeeze omwoyo gwange nti,
“Nze bulokozi bwo.”

4 cAbo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe
era baswazibwe;
abo abateesa okunsanyaawo
bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.
5 dBabe ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo,
malayika wa Mukama ng’abagoba.
6Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ng’abagoba.

7Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze,
ne bansimira n’ekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,
8 ebazikirizibwe nga tebategedde,
n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu,
era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.
9 fOmwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama,
ne gusanyukira mu bulokozi bwe.
10 gAmagumba gange galyogera nti,
“Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama?
Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi,
n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.”

11 hAbajulizi abakambwe bagolokoka
ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.
12 iBwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi,
ne banakuwaza omwoyo gwange.
13 jSo nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,
ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe,
naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
14ne mbeera mu nnaku
ng’ankungubagira ow’omukwano
oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike
ng’akaabira nnyina.
15 kNaye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse;
ne bannumba nga simanyi,
ne bampayiriza obutata.
16 lBanduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola,
ne bannumira obujiji.
17 mAyi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi?
Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa,
obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
18 nNnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu,
ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.
19 oTokkiriza balabe bange kunneeyagalirako,
abankyawa awatali nsonga;
abankyayira obwereere
tobakkiriza kunziimuula.
20Teboogera bya mirembe,
wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.
21 pBanjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti,
“Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”

22 qBino byonna obirabye, Ayi Mukama.
Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.
23 rGolokoka ojje onnyambe;
nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.
24Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange,
tobaganya kunneeyagalirako.
25 sTobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!”
Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”

26 tAbo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
batabulwetabulwe era baswazibwe;
abo bonna abanneegulumirizaako
baswazibwe era banyoomebwe.
27 uAbo abasanyuka ng’annejjeereza,
baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;
era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,
asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”

28 vOlulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.
Copyright information for LugEEEE